Romans 7:7-25

Okulwanagana n’Ekibi

7 aKale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.” 8 bEkibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu. 9Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa. 10 cEra ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa. 11 dEkibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita. 12 eNoolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.

13Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.

14 fTumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi. 15 gKubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 hNewaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 iNoolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 jMmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 kEkirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 lNaye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

21 mNoolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22 nMu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. 23 oNaye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange. 24 pNga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? 25Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.

Copyright information for LugEEEE